BIKAABYA AMAZIGA!

Abantu banji beyiye mu paaka ezenjawulo nga baagala kudda mu byaalo. Bano badiridde oluvanyuma lwomukulembeze weggwanga okulagila omuggalo era nga balina ennaku Kati bazibalira kungalo.

Wabula kino kibakoseza nanti etambula bazinonyeza mikwatto nga mazina olwo bungi bwabatambula okudda mu byaalo.

Okusinziila nti namasomero bagasibye, nabayizi bangi abadda mubyaalo. Naye Minisitule yamasomero oluwulidde amaziga gabayizi abasilanidde mu paaka bwetyo neyingila munsonga eno era ebawadde ebyenkatika Kubanga abasinga babadde batandise okulya tulansipooti.

Wabula atte bwebituuse kubisale byentambula, abavuga emotoka bayongezza emiwendo era Kati omuntu wabadde atambulira emitwalo ebiri(20,000#) Kati atambulirawo emitwalo nga munaana(80,000#)

Leero nolwenkya zennaku ezibadde zusembayo kwezo omukulembeze weggwanga zeyawa abebidduka okusaabaza abantu nga bava mu disitulikiti ezitali zawamu.

Bino bidiridde oluvanyuma lwokweyongera kwekirwadde kya covid-19 era nga kimalawo bangi.

Leave a Comment